Apps z’oku ssimu
Omulengo gw’emikutu gy’ennimi ez’enjawulo,egitali gya kusasulira, egikola nga toli ku mutimbagano. Abantu abakozesa emikutu gya Hesperian bakulembeza nnyo okukuuma ebyama.
Omulengo gw’emikutu gy’ennimi ez’enjawulo,egitali gya kusasulira, egikola nga toli ku mutimbagano. Abantu abakozesa emikutu gya Hesperian bakulembeza nnyo okukuuma ebyama.
Tuba balamu okusingawo bwe twesalirawo ffekka ddi lwe twegadanga, ddi lwe tufuna olubuto, na ddi lwe tuzaala abaana. Emikutu gya Hesperian mu nnimi ez’enjawulo egikola, girabikirako amawulire ageesigika agakwata ku nsonga z’okuzaala n’ebikozesebwa eby’omugaso. Oluvannyuma lw’okuwanula emikutu gino,kola nga toli ku yintaneti ne bwoba tolina data. Gikozese osobole okusalawo ku kwefunira ebibala by’okubeera omulamu,abaagalwa bo n’ekitundu kyo
Osobola okwetegerereza wano etteeka erifuga enkola y’omukutu gwaffe guno.
Omukutu ogukwata ku kuggyamu obulungi olubuto
Funa amawulire amatuufu,amajjuvu, era aga buli mutendera agafa ku kuggyamu obulungi olubuto. Geraageranya enkola ez’enjawulo ku kuggyamu obulungi olubuto, kozesa enkola ey’okubala ennaku z’okufuniramu olubuto, oddemu n’ebibuuzo oba okole ku nsonga eza bulijjo ng’okozesa olukalala lw’ebibuuzo ebisinga okubuuzibwa. Ejja okukozesebwa abantu aba bulijjo,abasawo ne bannamateeka,omukutu ogukwata ku kuggyamu obulungi olubuto mutono era mwangu okuwanula ( mb teziwera 40) ate nga gwakolebwa okukuuma ebyama by’oyo agukozesa.
ENNIMI ZETULINAWO
Ennimi z’oyinza okweroboza ku mukutu gw’okuggyamu olubuto obulungi:
• Afaan Oromoo
• Amharic
• Olungereza
• Olufalansa
• Olusipaana
• Olufalansa
• Igbo
• Olunyalwanda
• Oluswayiri
• Oluganda
• Olupotugo
• n’oluyoluba.
Kyusa wakati w’ennimi zonna 11 obudde bwonna.
Omukutu ogukwata ku nkola y’ekizaalaggumba
Guzimbiddwa okukozesebwa abasawo abatuukira ddala mu bantu, abakulembeze b’ebyalo, n’abavubuka abasomesa bannaabwe, omukutu guno gufumbekeddemu ebifaananyi ebirungi,amawulire amangu okutegeera, n’ebikozesebwa ebyangu ebiyinza okuyambako Mu kunyumya ku bikwata by’obulamu ebifa ku kuzaala. Enkola ey’ekizaalaggumba erimu emitwe emikulu ku kubudaabuda nga mwotwalidde n’engeri buli nkola gy’ekozesebwamu, butya bw’eziyiza okufuna olubuto, ngeri ki gye kiyinza okukuumibwa ng’ekyama n’ebivaamu.
ENNIMI ZETULINAWO
Ennimi z’oyinza okwerobozaako ku mukutu guno mulimu:
• Afaan Oromoo
• Amharic
• Olungereza
• Olusipaana
• Olufalansa
• Olunyalwanda
• Oluswayiri
• Oluganda
• n’Olupotugo.
Kyusa wakati w’ennimi zonna 9 obudde bwonna.
Safe pregnancy and birth app
Safe Pregnancy and Birth provides accurate, easy-to-understand information on pregnancy, birth, and care after birth. Clear illustrations and plain language make this award-winning app practical and user-friendly for community health workers, midwives, and individuals and their families. Free and small to download, this app works offline without a data plan.
Language choices in the Safe Pregnancy and Birth app: English, Español. Change between both languages at any time.