Omukutu ogukwata ku nkola y’ekizaalaggumba
App ey’obwereere, ey’ennimi nnyingi ekola nga tolina mukutu.
Okugezesebwa mu nnimiro ebitundu, apps za Hesperian zikulembeza eby’ekyama.
Gwakolebwa okukozesebwa abasawo b’ebyobulamu abatuukirwako, abakulembeze b’ebitundu, abatendesi, omukutu guno gujjudde ebifaananyi ebirabika obulungi, obubaka obwangu okutegeera, n’ebikozesebwa ebyangu ebisobozesa okuwuliziganya ku bikwata ku by’okuzaala. Enkola ey’ekizaala ggumba ekwata ku miramwa emikulu egibudaabuda nga mwotwalidde n’engeri buli nkola gy’ekozesebwamu, ngeri ki gy’eziyizaamu obulungi okufuna olubuto, ngeri ki gye kisobola okukuumibwa ng’ekyama n’ebiva mu ku gikozesa.
Kiteekeddwa mu mukutu gw’enkola y’ekizaala ggumb:
-
Enkola z’okuziyiza okufuna embuto – amawulire agafa ku kuziyiza, enneyisa, obutafaali, n’enkola ez’olubeerera era ezeesigika, ebirungi n’ebibi ebya buli nkola
-
Okulonda engeri y’okukozesa- ebintu ebikozesebwa ku kompyuta okuyamba ku bazikozesa okusobola okuzuula enkola z’okuziyiza okuzaala ze basing okwagala,enneeyisa yaabwe n’ebyafaayo ku bulamu
-
Ebibuuzo ebisinze okubuuzibwa – eby’okuddamu ku bibuuzo ebisinze okubuuzibwa ebyawamu ku kukozesa enkola eziziyiza okuzaala era n’ensonga ezikwata ku nkola ezisaanidde okukozesebwa okugeza oba osobola okuddamu n’okozesa obupiira bu kalimpitawa, era ddi lw’oyinza okutandika okukozesa buli nkola oluvannyuma lw’okuzaala, olubuto okuvaamu lwokka oba okuluggyamu obuggya
-
Amagezi n’ebyokulabirako eby’engeri y’okubudaabuda – yongera ku bukugu bw’olina mu kubudaabuda, gumya nga mukubaganya ebirowoozo ku mawulire agakwata ku by’okuzaala, n’obusobozi bw’okuyamba abantu aba buli ngeri